Isaiah 5:1-2
Olugero lw’Ennimiro y’Emizabbibu
1 aKa nnyimbire omwagalwa wange oluyimbaolukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu.
Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu
ku lusozi olugimu.
2 bEra n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna,
n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi.
Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa.
N’agisimamu n’essogolero
n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi
naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
Copyright information for
LugEEEE